Job 40

1 aAwo Mukama n’agamba Yobu nti,

2“Oyo anoonya okuyombera ebitaliimu anaayombesa Ayinzabyonna?
Oyo aleeta empaka ku Katonda, amuddemu.”
3Awo Yobu n’addamu Mukama nti,

4 b“Laba, sisaanidde, kiki kye nnaakuddamu?
Emimwa kangibikkeko n’engalo.
5 cNjogedde omulundi gumu, so siddemu;
weewaawo emirundi ebiri sseeyongere mulundi mulala.”
6 dAwo Mukama ng’ali mu muyaga ogw’amaanyi n’addamu Yobu nti,

7 e“Weesibe engoye zo onywere ng’omusajja.
Ka nkubuuze,
naawe onziremu.

8 f“Onojjulula ensala yange ey’emisango;
ononsingisa omusango ggwe atuukiridde?
9 gOlina omukono ng’ogwa Katonda,
eddoboozi lyo lisobola okubwatuka ng’erirye?
10 hKale nno yambala ekitiibwa n’obukulu
weesibe ekitiibwa n’okusukkuluma osukkulume.
11 iYolesa obusungu bw’ekiruyi kyo
otunuulire buli wa malala omusse wansi.
12 jTunuulira buli musajja ow’amalala omukkakkanye
era olinnyirire abakozi b’ebibi obabetentere we bali.
13Bonna baziikire wamu mu nfuufu,
emitwe gyabwe ogibikkire mu ntaana.
14 kNange kennyini ndyoke nzikirize,
ng’omukono gwo ogwa ddyo, gusobola okukuwa amaanyi.”

Amaanyi g’envubu

15“Laba ekisolo ekyefaananyiriza ng’envubu
kye natonda nga ggwe,
erya omuddo ng’ente,
16nga kirina amaanyi mayitirivu mu kiwato kyakyo
amaanyi mangi mu binywa by’olubuto lwakyo.
17Kiwuuba omukira gwakyo ne guba ng’omukira gw’omuvule
Ebinywa by’ebisambi byakyo byakwatagana nnyo.
18Amagumba gaakyo gali ng’enseke ez’ebikomo;
amagulu n’emikono ng’emitayimbwa.
19 lKibalibwa mu bitonde bya Katonda ebisooka,
ate nga Katonda eyakitonda asobola okukisemberera n’ekitala kye.
20 mWeewaawo ensozi zikireetera emmere,
eyo ku nsozi, ensolo ez’omu nsiko zonna gye zizannyira.
21Wansi w’ebisiikirize by’emiti egy’amaggwa, we kyebaka,
ne kyekweka mu bitoogo ne mu bitosi.
22 nEbisiikirize by’emiti bikibikkako,
emiti egiri ku mabbali g’omugga ne gikibikkako.
23Laba omugga ne bwe gusiikuuka tekyekanga;
kiba kinywevu, Yoludaani ne bwajjula n’abooga.
24 oEriyo omuntu yenna ayinza okukikwata,
oba okuyuza ennyindo yaakyo n’akasaale?”
Copyright information for LugEEEE